

Oli Mulungi Ekimala Mu Maaso Katonda?
Okunoonyereza okwakolebwa emabegako kw’alaga nti Abakkiriza bangi abagamba nti baazaalibwa omulundi ogwokubiri bakkiriza nti mu ngeri emu oba endala obulokozi bwabwe bwesigamye ku nneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe. Bakikkiriza nti Yesu yafiirira ekibi kyabwe, naye ate bwe bamala okumukkiriza ng’Omulokozi waabwe batandika okulowooza nti balina okubaako omutindo gw’obulungi gwe batuukiriza balyoke basaanire mu maaso ga Katonda.
Ekyo bwe kiba nga ky’amazima, omutindo gw’olina okutuukiriza gwe guliwa era ogutuukiriza otya? Ekkanisa okumala emyaka nkumi nankumi ebbadde egezaako okwanukula ebibuuzo ebyo naye ng’emaliriza abantu ebatadde mu ddiini n’okubazza mu busibe bw’okukwata amateeka n’obulombolombo.
Kaakati eky’okuddamu ekituufu ky’ekiriwa? Okutegeera ekituufu olina kutandika na kibuuzo kituufu. Ekibuuzo tekirina kuba, “tukole ki?” wabula kirina kuba nti, “Yesu yakola ki?” Bw’otegeera okubikkulirwa kw’omutume Pawulo okw’ekyo Yesu kye yakola mu bbaluwa y’Abaruumi togenda kuddamu kwebuuza nate oba ddala otuukiriza omutindo gw’obutuukirivu bwa Katonda oba nedda.
Format: E-Book
ISBN: 978-1-915210-17-3