Luganda - New You and the Holy Spirit PDF

£5.75

Kiki ekyabaawo bwe walokoka n’ojjuzibwa n’Omwoyo Omutukuvu? Soma ekitabo kino olabe Andrew ng’akulaga ebiri mu bulamu bwo obupya mu Kristo n’ebiri mu kubatizibwa mu Mwoyo Omutukuvu.

Ggwe Omuntu Omuggya: Kikulu nnyo okutegeera ekyabaawo bwe wakkiriza Yesu okubeera Omulokozi wo. Okumanya ensonga eyo n’okugitegeera kikuyamba okukuuma Ekigambo ekisigibwa mu mutima gwo obutabbibwa Setaani. Obulokozi bulimu ebintu bingi okusinga kw’ebyo by’olowooza.

     Okusonyiyibwa ekibi si kye kintu kyokka kye tufuna mu bulokozi. Okusinziira ku ndaba ya Katonda, okusonyiyibwa ebibi ebeera bubeezi ntandikwa etuyamba okutuuka ku nkomerero. Okussa ekimu ne Katonda ky’ekigendererwa ekya nnamaddala. Kaakano fuuka omuyigirizwa [omuyizi era omugoberezi] wa Yesu. Tegeera ekyo ekyawula Obukristaayo ku ddiini endala zonna; tegeera engeri Katonda gy’atunuuliramu ebibi eby’edda, ebya kaakano n’eby’omu maaso; era otegeere n’ebintu ebirala bingi ddala.

Omwoyo Omutukuvu: Okubeera mu bulamu obw’omuyiika Yesu bwe yatufunira tekisoboka ewatali Mwoyo Mutukuvu. Abayigirizwa ba Yesu bwe baali nga tebannamufuna baali banafu era nga batiitiizi. Naye bwe baamala okujjula Omwoyo bafuuka ensibuko y’amaanyi ga Katonda agakola eby’amagero, era amaanyi ago naawe osobola okugafuna.

Bw’oba ng’okkiriza nti Bayibuli y’amazima, era olina okukkiriza nti kwagala kwa Katonda buli muntu okubatizibwa mu Mwoyo Omutukuvu. Mu kitabo kino Andrew annyonnyola omugaso gw’okwogera mu nnimi, ayogera ku birabo bingi ebikigoberera, ayogera ne ku migaso emitonotono egimanyiddwa era n’annyonnyola n’engeri omuntu gy’atandikamu okwogera mu nnimi.


Buy Luganda - New You and the Holy Spirit PDF
Price per item: £5.75
Quantity
Looking to leave a review? To leave a review you must first be logged in using your AWMPass username and password. Click here to login.