
Omwoyo, Emmeeme n’ Omubiri – Book (PDF Digital Download) (Luganda)
£7.00
Omwoyo, Emmeeme n’Omubiri ly’essomo erigenda okukuyamba okumalawo endowooza embi n’okukujjamu ebirowoozo ebijjudde okubuusabuusa ebyonoona okukkiriza kwo.
English title: Spirit, Soul and Body
Format: PDF
Page count: 219
ISBN: 978-1-910984-64-2
Ekitabo kino ky’ekirimu okubikkulirwa okukola omusingi gw’ebyo byonna Andrew Wommack by’ayigiriza. Buli mukkiriza yenna kimugwanira okukisoma.
Bwe wazaalibwa “omulundi ogwokubiri” wali weebuuzizzaako ekyakyusibwa mu ggwe? Bw’otunula mu ndabirwamu ekifaananyi kyo kisigala kye kimu ng’omubiri gwo tegukyuse. Weesanga ng’okyeyisa mu ngeri yeemu era ng’okyawangulwa ebikemo bye bimu ebyakuwangulanga nga tonnalokoka– ne mu nsonga eyo tolabawo kyakyuka. Kale bw’otyo ne weebuuza nti, naye ddala waliwo ekyakyuka bwe nnalokoka?
Eky’okuddamu ekituufu eri ekibuuzo ekyo kikulu nnyo bw’oba ng’onafuna ebyo Katonda by’agaba. Bw’oba nga tolina kumanya kuno okusookerwako, olubeerera ogenda kuba nga weebuuza ebibuuzo ebijjudde okubuusabuusa ebigamba nti: “Naye Katonda asobola atya okwagala omuntu afaanana nga nze?” “Nnyinza ntya okubaako kye nsuubira okufuna okuva ewa Katonda? Nze sisaanira kubaako kye nfuna kuva eri Ye, kubanga siri mulungi kimala!”
Omwoyo, Emmeeme n’Omubiri ly’essomo erigenda okukuyamba okumalawo endowooza embi n’okukujjamu ebirowoozo ebijjudde okubuusabuusa ebyonoona okukkiriza kwo. Bw’oba ng’okyalubirizibwa okufuna Katonda by’agaba, ekitabo kino toteekwa kukisubwa!
|


